Ssente Eziva Mu Mafuta Tezimanyiddwa

0
1185

Abakungu okuva mu ministule yebyensimbi nga bakulembeddwamu Minisita Matia Kasaijja batunudde ebikalu mu kakiiko ka palamenti akanoonyereza ku kasiimo ak’obuwumbi bwa siringi Omukaaga obwagabanibwa abanene mu gavumenti.
Emberebezi evudde ku kulemerwa kubulira kakiiko omuwendo omutuufu ogw’ensimbi Uganda zeeyakafuna mu mafuta ekitabudde ababaka.