Ab'e Nakaseke Balumiriza Kadaga Okubagoba ku Ttaka

0
1073

Abantu abagobanyizibwa kutta okuva ku byaalo munana okuva mu district ye Nakaseke bebagumbye ku palaamenti nga baggala Sipika Rebecca Alitwala Kadaga abanyonyole oba ddala kitufu yaali mukubagobaganya kutta ngaakozesa abaserikale b’e Mmundu.
Abatuuze ababadde abakawu bategezeza nti omukozi wa palaamenti ayitibwa Grave Byakika atela okukozesa elinya lya Sipiika Rebbeca Kadaga e nakaseke okubagobaganya ku ttaka lyabwe awatali kuliyirirwa wadde ne nusu nga yeyambisa abasajja abalina mundu.