Abaakwatibwa Nga Basaba Enguzi Babasindise Luzira

0
474

Olwaleero abakozi ba ministry y’ebyensimbi ababiri abakwatibwa e wiiki ewedde oluvannyuma lwa poliisi n’ekitongole ekikessi okutemezebwako nti baalina omusiga nsimbi gwebaali baggyeko ekyooja mumiro baleeteddwa mu kkooti era nebasomerwa emisango egyabaggulwako.
Ogol John Charles ng’ono y’akulira ebyensimbi mu ministry ne Turyamuhika Geoffrey omukugu mu byenfuna beebasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Alum Agness owa kkooti erwanyisa obukenuzi n’ebasomerwa emisango esatu okuli ogw’okuperereza n’okujja ekyooja mumiro ku mwami omu ategeerekese nga Hassan Sserunjogi nga gyonna