Ababaka Baagala Tteeka ku Basumba Lwa Bujjingo

0
1198

Ekikolwa ky’omusumba w’ekanisa ya House of Prayer Ministries Aloysius Bungingo okwokya BAIBULI kyandimufukira ensanafu mu mpale anti kati nababaka mu lukiiko lw’egwanga olukulu nabo bamutabukidde nebatuuka n’okwebuuza oba nga ddala musajja wa Katonda.
Kakati ababaka bagamba nti bagenda kuvaayo n’etteeka eririna okulambika engeri omuntu gyalina okufukaamu omusumba kuba kirabika ng’abamu baliwo kubba banayuganda.