Ebya Kabafunzaki tebinaggwa

0
1118

Kyabadde kya buswavu HebertKabafunzaki eyaweebwa obukungu ne gavumenti nemufaako okukira abalala ng’emuwa emmotoka etawulira binnya, n’eguliramu amafuta, nemuwa obukuumi nebirala; ate omuntu omu okukwatibwa mu buliika, ng’agenze okusaba musigansimbi obukadde 30.
Yadde nga guli gutyo, waliwo ebibuuzo njolo ku kukwatibwa kwa minisita ng’ebimu biva ku byaliwo nga tannakwatibwa, ebyabadde mu kumukwata ate n’ebyayogeddwa Muhammad Hamid eyamukwasiza.