Ebyapa By'omu Ntobazi Byakusazibwamu – Dr. Goreti Kitutu

0
1082

Bannauganda abalina ebyapa by’ettaka mu ntobazi basabiddwa okubizzaayo mu minisitule y’ebyettaka bunnambiro. Minister avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi Dr. Mary Gorret Kitutu agamba nti kino kitwaliramu abo bonna abaafuna ebyapa okuva mu 1995.Bino minisita Kitutu abyogedde bw’abadde asisinkanye abayizi b’essomero lya Kampala international gy’abadde aganze okuyigiriza abaana bwebayinza okwetaba mu kukuuma obutonde.