Nsalenssale W'okuwandiisa Amasimu Siwakukyuuka

0
1068

Ababade balinda ekirangiriro okuva mu gavumenti kukwongezaayo ennaku z’okuwandiisa kaada z’essimu nga mukozesa endaga muntu gabalimbye, ekyo gavumenti si yaakukikola.
Mukwogerako ne NBS televisivision, ssaabaminisita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye omuwendo gwabakewandiisa gusanyusa era bangi ku bannayuganda bawandiisizza essimu zaabwe, kale tebalina kibongezesaayo.