UCC Bagikubye mu Kkooti

0
1022

Waliwo ekitonngole ky’obwannakyewa ekikubye akakiiko k’ebyempuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communications Commission mu mbuga, nga kiwakanya okuggyako amasimu ga Bannayuganda singa gaba tegawandiisiddwa mu nnaku musanvu
Ab’ekitongole kino ekirwanirira eddembe ly’obuntu bagamba nti UCC yalemwa okuwandiisa layini z’essimu okumala emyaka kati eyagala ebitongole by’amasimu biziwandiise mu nnaku 7 zokka, ekintu ekiraga obutali bulambulukufu.