Villa 1 : 1 KCCA FC

0
1142

Emikisa gya Villa okusitukira mu kikopo kua sinzoni eno gyongedde okusanyalala, abalina ekikopo kino aba KCCA bwebabalumbye mu maka gaabwe e Masaka nebabasuza obubonero bubiri. Omupiira guwedde goolo emu ku emu Geofrey Serunkuma yasoose okuteeba mu ddakiika eye 70, ate mu ddakiika eye 75 Emanuel Okwi nakuba eyekyenkanyi.