Besigye Alabudde Ab'e Kyegegwa ku Ttaka
Rtd Col. Dr. Kizza Besigye akyataagala eggwanga ng’asomesa abantu ebikwata ku ttaka ng’akozesa enngombo gyeyatuuma My land my life ekivvunulwa nti “Ettaka lyange, bwe bulamu bwange”
Bwabadde e Kakabara mu district y’e Kyegegwa akalaatidde abaayo okusimbira ekkuuli enteekateeka zonna ez’akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemererire zaagabye nti tezigenda kuvaamu kalungi konna.