Besigye Poliisi Emulabidde Nakaseke

0
1266

Eyaliko Senkagale w’ekibiina kya Fdc Dr Kiiza Besigye akubye abasirikale ba Poliisi e Kimooni nga basigadde bebuuza wa gyayise okutuuka mu kibuga e Nakaseke gyasinzidde neyekokola Poliisi olw’okudda ku bantu okutulugunya ngebyokuttale, kyoka nga kati eri mukwekangabiriza nga muzibe alingiza mbu tenaba kubatulugunya.
Besigye ali mukutalaaga ebitundu by’egwanga eby’enjawulo ng’asomesa abantu ebikwata ku kibba ttaka neddembe lyabwe kuttaka agamba nti byonna biraga nti bali mubuyinza bakoowu.