Akakiiko K’ebyokulonda Kagenda Kwetunulamu

0
758

Akakiiko k’ebyokulonda kagenda kwebuuza ku Bannayuganda bakategeeze engeri gyebaalabamu akalulu ka 2016 kibayambe okukola enongesereza mu byokulonda.
Ssentebe w’a kakiiko k’ebyokulonda Byabakama Mugenyi Simon ategezeza banamawulire nti bingi ebyaava mu kulonda bawulira biwulire n’ebirala ne babisoma mu alipoota nga kati bandyagadde abalonzi benyini bababulire nga bwebyaali.