Amabanja Ga Banka Gatuli Bubi!

0
1112

Omubaka wa palamenti owa Kampala Central Muhamad Nsereko ali munteekateeka ya kusaba paalamenti lukusa nga ezzeemu olunaku olwenkya, emukirize abage ebbago lyeteeka eligenderera okulagira gavumenti esasulire bannayuganda bamufuna mpola amabanja gabwe gona gebalina mu bbanka.
Okusinzira ku mubaka Nsereko, mu banga lya mwaka gumu gwokka bannayuganda abeewola ssente mu bbanka abawerera ddala obukadde 8 ebintu byabwe byolekedde okuboyebwa oluvanyuma lwokuleremererwa okusasula amabanja ga bank.