Ani ‘Omupantagoniya’ Ataayiza Ekyapa Mu Ngalo?

0
1088

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga acoomedde police ne kooti nti byebitongole ebiremezaawo emirerembe gyettaka mu ggwanga.
Katikkiro agamba police kyekoze kwekulemererwa okunonyereza ku mivuyo gyettaka ate bo abalamuzi mu kooti ezimu kyebakola kwekwebuzaawo nebalemwa okusala emisango olwo abantu nebawangalira mu kusika omugwa ku ani mutuufu.