Enguudo Ezinaatambuza Abantu ku Lunaku Lwabakozi Balima Bulimi
Uganda enkya egenda kwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lw’abakozi, era emikolo egyegwanga gigenda kukwatibwa mu district ye Palisa. Omusasi Waffe Kibalizi John mutaka e Palisa, naye atubulidde nti enguudo babadde bakyalima bulimi, nga bwekigenze okwegattamu enkuba efukumuka negujabagira.