Museveni Aliko Bawadde Emidaali ku Mukolo Gw'abakozi

0
527

President Yoweri Kagutta Museveni agambye nti aleeta etteeka erigenda okubonereza bawaddanga abagufudde omuze okukeera okwesiwa amagengere ne beerabira okukola emirimu.
Ayongedde era okuwera nti waakwongera okutega abakozi ba Gavt ababbi obutego kuba lye ddagala lyokka erigenda okumalawo obuli bw’enguzi mu gwanga.
Museveni asinziide Paliisa ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa bakozi era nasaba abantu okukozesa obuggaga bw’ettaka okwegobako obwavu.