Oluguddo Lw'e Lumino Luliggwa Ddi?

0
817

Okukola oluguudo oluva Musita neruyita e Lumino okugguka e Majanji mu buvanjuba bw’eggwanga lwandifuuka gannyana anti nabaweebwa omulimu gw’okulizimba balabika nga besuliddeyo gwa Nagamba.
Abachina abakola oluguudo beekwasa gavumenti okukyusa buli kiseera, abatuuze banenya ekitongole ky’ebyenguudo ki UNRA okulwawo okubasasula so nga UNRA enenya abakulembeze b’ebitundu okuwanika emiwendo gy’abalina okuliyirirwa ate ne gavumenti okugiwa ensimbi ez’omunyoto.