Omulamuzi Bamugemereire Yeeweredde Abakuluppya Ettaka

0
1277

Omulamuzi Catherine Bamugemereire aweze nga bwatagenda kuttira muntu yenna ku liiso kabeere omukozi wa gavumenti, ssinga wabaawo obujulizi obumulumiriza okwenyigira mu kibba ttaka ekikudde ejjembe mu ggwanga.
Kino kiddiridde abajulizi abalabiseeko mu kakiiko olwaleero okuva e Luwero okulumiriza nga abagobaganya abantu ku ttaka bwebeerimbika mu kiti ky’okukola wofiisi ez’amaanyi mu gavumenti era nga b’ebantu b’ebamu ababalabula obutagezaako kuwa bujulizi mu kakiiko nga ssinga bakikola, kaba kaakubajjuutuka.

More News