NEMA Egenda Kusengula Abasooba Mu 300 E Mbarara

0
968

Ekitongole ekirabirira obutonde bw’ensi mu ggwanga ki Nema kiteekateeka okugoba amaka agali eyo mu 300 abeesenza ku ttaka ly’omugga Rwizi, nebatandika n’okulimako.
Abamu ku beeraliikiridde bakozi ba gavumenti abeegabanya ettaka lino.
Aba Nema baweze nti tebajja kusasula muntu yenna eyeesenza ku ttaka, so nga teri gwebajja kuttira ku liiso kuba ettaka baalisengako lwa mpaka era nga tebalirinaako byapa.