Emidaali Gifusse Gya Jjenjeero

0
984

Abantu bangi wano mu mugwanga abazze baweebwa emidaali egyebika ebyenjawulo okusinziira kubirungi byebakolledde egwanga okugeza waliwo omudaali oguweebwa abazirwanako,oba abayambako mu lutalo nga gugabwa kulunaku lwabazira, newabaawo omudaali ogugabwa kulunaku lwabakozi soonga waliwo ogugabwa kulunaku llwamefuga.
Olunaku olwegulo pulezidenti Museveni yasimye abazirwanako mpozi nabantu abalala abakoze ekinene mu kukyusa egwanga lino naddala banannakatemba. Abantu bangi emidaali gino bagiraba ng’ekitagasa naye twogedeko nabamu kwaabo abaali bafunye kumidaali gino okutuwa ekifananyi ekituufu kugyo.