Abacooli N'abamadi Bettemye Lwa Ttaka

0
858

Abantu abakunukkiirza mu 30 bebapooca n’ebiwundu mu ddwaliro lya Laco e Gulu oluvannyuma lw’okulumbibwa Abamadi ne babakuba obusaale nga babalanga kwesenza ku ttaka lyabwe.
Kigambibwa nti abantu bana beebaalufiriddemu ate abamu ku baleeteddwa mu ddwaliro bali mu mbeera mbi nnyo ng’okuwona, e magombe baakusimbayo kitooke.