Abakozi Ba Gavumenti Bamugemereire Abagudde Ko Bugwi

0
445

Akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka akakulemberewa omulamuzi Catherine Bamugemereire kakyaddeko ku woofisi ze byettaka e mukono nga tekalazze nebalambula offisi ezitali zimu okulaba nga emirimu bwegikolebwa.
Munsonga akakiiko ze kasanzze mubademu okusomozebwa okwenjawulo abakozi kwe balimu okuli obutaba nabikozesebwa nga komputa, obufunda bwa owoofisi mwebakolera nawaterekebwa fayiro ze byettaka.