Abayizi Ba Pulayimale Bakaaye, Beekalakaasiza

0
896

Abayizi b’essomero lya Karuma Primary School mu district y’e Kiryandyandongo bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga bajjukiza abali ku mulimu gw’okuzimba ebbibiro ly’a Masannyalaze okubazimbira essomero lye baabasuubiza.
Abayizi ababadde n’abasomesa baabwe bagamba nti bakooye okujjukizanga aba Karuma Hydro power project okuzimba essomero lye baasuubiza oluvannyuma lw’okutwala ekitundu ku ttaka lyabwe, nga baling abafuuyira endiga omulele.