Andooliito Mu Kalulu Ka FUFA

0
572

Oluvanyuma lwokugoba ebiwandiiko byeyalese mu kugezaako okwesimba ku bwa Pulezidenti wa FUFA, Mujib Kasule agudewo olutalo ssematalo ku Moses Magogo n’ekibiina kino.
Mujib mu kwogera eri bannamawulire ku wooteri ya Tipsy e wandegeya olwalero, agambye nti ebiwandiiko bye tebyagobedwa mu mateka wabula Magogo yaali mu lukwe okumulemesa okumuvuganya, era ategeezeza nti ensonga zino waakuzongerayo mu kooti eramula ensonga mu muzannyo guno.