Ensimbi Z'edagala Zaabula, Muhakanizi Akiguddeko

0
1224

Ababaka ba paalamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensaasanya ye ensimbi z’omuwi w’omusolo aka Public Accounts Committee batabukidde Omuwandiisi omukulu owa Ministule ekola ku byensimbi Keith Muhakanizi n’abakungu abalala mu Munistule eno olwokubawa amagezi nti kalisoliso wa gavumenti yaba anonyereza ku nsimbi ezigambibwa okubula, obuwumbi 735 nebakijja ku palaamenti.
Kati nno ababaka bano nga bakulembeddwamu Amyuka Ssentebe w’akakiiko Gerald Karuhanga bagambye nti omulimu gwa palamenti bagumanyi bulungi ela Keith Muhanizi ne bane sibebalina okubawa amagezi ku butya bwebalina okunonyereza era nti batekwa okujja mu kakiiko kulwosatu lwa wiiki eno babitebye.