Ez'okubaka Mu Africa Ziri Mu Kampala

0
469

Nga wabula saawa busaawa tiimu y’eggwanga eyokubaka egulewo empaka za ssemazinga wa Africa ezookuyindira mukampala okutandika enkya, abazannyi babade beekumyemu ogutaaka nga batiisa tiisa nobutazannya mizannyo gino olwembera embi gyebayiseemu mukwetegeka.
Wabula olunaku lwalero omukungu wa government era nga ye ssentebe wakakiiko ak’ebyekikugu ku National Council of sports Zubail Galiwango abakyalideko mu kutendekebwa kwabwe e lugogo nabasuubiza nti government eja kutereeza bulikimu.