Munna DP Nabukenya Alinde 2021

0
1081

Eyali omubaka omukyala owa Luweero Brenda Nabukenya avudde mu kkooti ejulirwamu nga yeesansabaga, abalamuzi ba kkooti eno bwebasazeewo nti Lillian Nakate talina musango gweyazza mu kulonda kwa 2016.
Nakate yaddukira mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ensala ya kkooti enkulu eyali emugobye mu paalimenti nti yabba obululu n’okugulirira abalonzi.