Museveni Asiibuludde Abasiraamu

0
864

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri K Museveni yeeyamye okutuuza olukungaana olugendereddwamu okugatta abasiraamu mu ggwanga olumanyiddwa nga Muslim General Assembly n’ekigendererwa ekyokumalawo enkaayana, okwerumaruma n’okweyawulamu okututta ebbanga eddene.
President okwogera bino asinzidde mu maka ge e Ntebe ku mukolo ogw’okusiibulula abayisiraamu ogwabaddewo mu kiro ekyakesezza olwaleero.