Ndejje Etegese Eza Yunivasite

0
1349

Abakungu b’ekitongole ekivunanyizibwa ku mizannyo gy’amatendekero agawagulu mu ggwanga,olwalero bayisiza ebisaawe n’ebisulo bya ssentendekero wa Ndejje ne Ndejje Secondary School empaka z’omwaka guno wezinayindira mu December.
Bano nga bakulembedwamu Peninah Kabenge akulira ebyemizannyo mu matendekero agawagulu mu Uganda, basoose kulambula bifo bino era nebasiima omulimu ogukoledwa.
Empaka zino zigenda kuba zamulundi gwa 17 nga zibade zasemba okubera e Ndejje mu 2011.