Owa Poliisi Abbye Ebizibiti

0
812

Poliisi e Luweero eri ku muyiggo gwa muserikale waayo eyabombye oluvanyuma lw’okwezibika ekizibiti kya bukadde bwa siringi Sh. 6.8m
Detective sergeant Nelson Aliro anoonyezebwa, yeyali avunanyizibwa ku tterekero ly’ebizibiti yasooka kumala nnaku bbiri nga talabikako ku mulimu ekyawaliriza bakama be okugenda ewuwe okulaba ogubadde naye ekyabaggye enviiri ku mitwe kusanga nju nga nkalu.