Kalidinaali Asisinkanye Banna Kizito

0
898

Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala asisinkanye abaana bonna abasoma mu ssaza ekkulu ery’e Kampala abegattira mu kibiina kyabwe ekya bannakizito ku kiggwa kyabajulizi e Namugongo.
Kalidinaali mu missa gyayimbye asabye abaana abato okutwala ekyokulabirako ky’omujulizi Kizito bayige okugabana n’abatalina bwebaba bakukula n’omutima ogulumirirwa abalala.