Kabafunzaki Waakuwoza Mu Gw'omunana

0
1179

Eyali minisita w’abakozi n’awummuzibwa Herbert kabafunzaki olwaleero alabiseeko mu kkooti ewozesa abakenuzi mu Kampala, nga awerennembe n’emisango gy’okulya enguzi gy’agambibwa okuzza nga tannawummuzibwa.
Kkooti ewadde ennaku z’omwezi 10, 14 ne 28 Ogwomunaana nga kw’enaawulirira emisango gya Kabafunzaki ne banne babiri bwebagambibwa okusaba omugagga Hamid Muhammad enguzi.