Ababaka Bagugumbudde Nankulu

0
419

Akakiiko ka paalamenti akakola ku kulondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE kongedde okuteeka abakungu ba KCCA ku nninga oluvannyumyuma lw’okulemererwa okulaga ensaansaanya y’ensimbi za gavumenti ezaabaweebwa okukola emirimo mu kibuga.
Akakiiko era kalagidde Nankulu w’ekibuga Jenifer Musisi okuzzaayo obukadde 204 gavumenti zeyafiirwa oluvannyuma lw’okusazaamu endagaano ne kampuni eyali ey’okuzimba AQUA CULTURE STOP CENTER Ekomambonga
Sam ibanda mugabi abaddeyo mu kakiiko nga bino Byonna bigenda mu maaso.