Ababaka Bakaaye Lwa Ttaka

0
759

Abamu ku babaka ba paalamenti basabye gavumenti ejjeyo ebbago ly’ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka, nga lino gavumenti yalyanjulidde paalimenti wiiki ewedde.
Ennongoosereza mu tteeka lino gavumenti eyagala ewebwe ebbeetu okutwala ettaka ly’omuntu yenna nga tannayirirwa, esobole okulikolerako polojekiti yonne gyeyagala naddala ezeenkulaakulana.
Kino ababaka bano kyebawakanya, era balabudde nti singa gavumenti enaalemerako nga ensogera ye ennaku bweri, bagenda kukunga babaka bannaabwe baliremese.