Ababbi Batolosezza Abasibe E Mukono

0
512

Abazigu mu kiro ekikeseza olwa leero balumbye police post ye Kyetume esangibwa mu gombolola ye Nakisunga mu disitulikiti ye Mukono nebatta crime preventer ategerekesse nga Okongo David oluvanyuma ne’batolossa abasibe ba 3 abasangiddwa mu kadukulu.
Okongo okutirimbulwa kigambibwa nti yasangiddwa ku police yekka oluvanyuma lwo musirikale gwe yabadde alina okukola naye okumulekawo nga agenzze kunonya kyagulo.