Abakulembeze e Mukono Batabuse Lwa Musenyu

0
942

Wabaluseewo obutakaanya wakati wo mukubiriza wo lukiiko lwa disitulikiti ye Mukono Emmanuel Mbonye wamu ne sentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga nga entabwe eva ku nsonga zomusenyu ogusimibwa wakati mu luguudo oludda ku gombolola ye Mpunge.Sipiika Mbonye ategezeza nti tajja kulonzalonza nga ayita mu mateeka agabafuga okukunga ba kansala baleeta ekitesso ekijja obwesigge mu ssentebe oba okusimbibwa mu mbuga za mateeka abitebye lwa kulagajalira nsonga zolugudo olwongera okuwumogolwa nabuli kati wabula ye sentebe Ssenyonga ono amwanukudde nategeza nti yenonyezza bibye ngomuntu.