Abatuuze E Mityana Bacoomedde Poliisi

0
633

Abatuuze ku kyalo Buluma mu ggombolola y’e Butayunja mu disitulikiti y’e Mityana beekumyemu ogutaaka ne beekalakaasa nga balumiriza police y’e Mityana okubalumba n’ebakubamu amasasi agattirawo ebbujje lya myaka ebiri n’abalala ne basigaza ebisago nga na kati abamu baggyiramu ddala bulema bwennyini.
Abapoliisi ab’ekitongole kya flying squad baalumba abantu bano mu mwezi Ogwokusatu mu mwaka guno oluvannyuma lw’okutabukira mutuuze munnaabwe omu,gwe baali balumiriza okuleeta ebyawongo ku kyalo ebyabatigomyanga ssaako okukabasanya abakazi.