Abawagira Kahonda Ssi Bamativu, Bawandiikidde Museveni

0
962

Abalonzi mu ssaza lye Ruhinda mu disitulikiti y’e Mitooma nga bano bebegatira mu mukago ogwa Ruhinda Concerned Citizens Forum beekubidde enduulu ewa pulezidenti Yoweri Museveni nga bamusaba okutunula mu nsonga ezaaviirako okusibibwa kw’omubaka waabwe Rtd. Capt. Donozio Kahonda ali mu kkomera e Kirinya mu Jinja.
Bano era bagala omubaka waabwe ayimbulwe mangu nti kuba alangibwa bwemage okuleka enkayaana zebyobufuzi.