Ab'e Mubende Tebatudde Lwa Ttaka

0
944

Abakulembeeze e Mubende batuunze omwoyo ng’enkoko emira ensanafu nebalangira omubaka wa President mu kitundu kino Beyunga Florence gwebagamba nti yekobaana n’abagagga okunyaga ebibanja .
Abakulembeze okuvayo okwambalira RDC kidilidde abatuuze okuva kubyalo 4 okuli Kanyogoga LC1, Kifumbira LC1, Kagezi LC1, Ne Lwebaga LC1 mumuluka gwe Kanyogoga mu Gombolola ye Butorogo S/C wano Mubende okuvayo nebakubira enddulu nga bagamba nti waliwo omugagga ayagala okuwamba ebibanja byabwe nga yeyambisa police ne RDC wa Mubende.