Amatikkira Ga Beene Gatuuse

0
938

Munteekateeka zamatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agoomulundi ogwa 24 zitambula bukwakku.
Omukolo omukulu gwakukulemberwa emirala mingi gamba nga olusiisira lw’okusomesa abantu ba Beene ku bintu ebyenjawulo gamba amateeka g’ebyettaka, enkola yeekypa mu ngalo nga Omutanda bweyalagira.
Amatikkira g’Empologoma gazibwa buli nga 31 kasambula oba July, anti Omuteregga Ronald Muwenda Mutebi II lweyatuuzibwa ku Namulondo ya bajjajja be mu 1993.
Ebikujjuko biri mu ssaaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Buweekula.