Eyabba Ettaka e Nakaseke Bamusibye

0
798

Abakulembeze okuva mu district y’e Nakaseke batuuyanidde mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akanoonyereza ku mivuyo egiri mu byettaka mu ggwanga.
Mu bakunyizidwa mubaddemu omugagga Hans Rugari, addukanya kampuni ya SPA financial services, John Mugerwa ssentebe w’eggombolola e Nakaseke, akulira akakiiko k’ebyettaka mu disitulikiti y’e Nakaseke Mukiibi Geoffrey Ne Susan Abbo omuyambi wa pulezidenti ku nsonga z’ettaka.