Gavumenti Evuddeyo Ku Nkaayana Y'ettaka

0
970

Oluvanyuma lw’enkayana z’ettaka okulinya enkandago wakati wa distulikiti ezitali zimu abamu nebatuuka nokuyiwa omusaayi, Gavumenti eramula kuno esazeewo okuddamu okweruura ensalo za district zonna mugwanga .
Omubeezi wa minisita akola ku by’etaka Persis Namuganza, agamba nti kino bakikoze oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu districts 54 ez’enjawulo nga zirwanira ensalo ezizaawula.