Gavumenti Yeegaanye Eby'emyaka

0
608

Gavumenti kyaddaaki evuddeyo neyeesamba ebibadde byogerwa nti yamaliriza okuteeka ebbago ly’etteeka mu kyapa kya gavumenti ely’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti ensangi zino ezoogeza Bannayuganda ebisongovu.
Amyuka Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana abuulidde paalamenti olwaleero nti n’abali mu gavumenti eby’ebbago lino nabo tebabimanyi era kyabeewuunyisizza okulaba abantu nga batabuse.