Gavumenti Yeewolerezza Ku Ttaka

0
1173

Ministry y’ebyettaka n’amayumba wamu n’akakiiko ka gavumenti akakola ku nsonga z’ettaka aka Uganda Land Commission olwaleero bavuddeyo nebatangaaza ku bibadde biyitinngana nti gavumenti eteekateeka kuleeta tteeka elinakifuula ekyobuwaze eri bannayuganda okuwangayo ettaka lyabwe awatali kwesiimira ssinga eba elyagadde okulikulakulanya.
Ebitongole byombiriri bigamba nti kino mu mateeka agaliwo agakwata ku ttaka kyalambikibwa bulungi wabula nga kyebeetaaga kwekukola ennongosereza ku ndiyirira esinze okuvaako emirerembe n’emirimu gya gavumenti okwesiba.
Bushrah Namirimu abaddeyo mu lukungaana lwa bannamawulire.