Kayiihura Enkya Agenda Mu Kakiiko K'ettaka

0
934

Akakiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka kazzeemu okukakkalabya emirimu gyako olwaleero oluvannyuma lw’okuyimirira akabanga olw’ensimbi.
Mu lutuula luno mwekayitidde omuduumizi wa Poliisi ya Uganda GEN Kale Kayihura ajje annyonnyole abantu abavudde e Jinja byebabadde beemulungunya nti omugenzi Andrew Felix Kaweesi yeekoobana n’omugagga Birungi simpson nabagoba mu kibube mwe baali bawangaliidde.