KCCA FC Enaayita Ku Ya Morocco?

0
561

Nga tiimu ya KCCA FC egenda okwambalagana ne FUS Rabat olunaku lw’enkya mu mpaka za CAF Cofederations cup, omutendesi Mike Mutebi akubidde abasambi be omulanga bewale okukola ensobi ezaabakubya goolo 3-0 mu lusisinkana olwasooka ne tiimu eno e Morocco.
Olwalero mu lukungaana lwabannamawulire olutuuziddwa ku maka ga tiimu eno e Lugogo, Mutebi ayanjude ne musaayi muto Peter Magambo asuubirwa okusamba omupiira gwe ogusooka mu mpaka zino enkya.