Okujjukira Omulangira Nuhu Mbogo

0
816

Buli ng’ennaku z’omwezi 30 Ogwomusanvu, Omulangira Kassim Nakibinge n’abasiraamu bajjukira okukomawo kwa jjajja we Nuhu Mbogo Kyabasinga okuva mu buwanganguse e Zanzibar nga bweyali enkola ya mukadde we gweyaddira mu bigere, Alhajj Badru Kakungulu.
Olwaleero mu kitundu kyaffe ekisoose ku kujaguza amadda g’omulangira Nuhu Mbogo Kyabasinga agagenda okuweza emyaka 122, tukwanjulira ebyafaayo ebikwata ku Mulangira eyalekera muto we Namulondo asome eddiini y’obuyisiraamu.