Okuwandiisa Abaana Kulina Wekutuuse

0
1014

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa bannayuganda kinenyezza bannakampala ne Wakiso olw’okulagajjalira okuwandiisa abaana baabwe okufuna endagamuntu nga kigamba nti bukya okuwandiisa abaana abali wakati w’emyaka 5 ne 16, bannaKAMPALA n’abe Wakiso beesuliddeyo gwa nnagamba.
Omwogezi w’ekitongole kino Gilbert Kadilo era ayongedde okukinogaanya nga abaana akakadde kamu n’emitwalo 40 bebawandiisizza mu bbanga lino era nga omulimu gukyagenda mu maaso okutuusa nga 30 omwezi ogujja.