Omusolo Ku Nnyumba Gujja

0
682

Nankulu w’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA Jennifer Ssemakula Musisi akawangamudde, nti newankubadde nga abantu ssekinoomu bafuba basasule omusolo gw’amayumba gwebabakanda, ate byo ebitongole bya gavumenti tebifuddeeyo kusasula nsimbi zino.
Musisi abadde alabiseeko mu kakiiko ka paalimenti akatunuulira entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, asookedde ku banyinimu aba paalimenti nabo ku nsonga eno tebeenyenya ko ebitongole ebirala.
KCCA era ereeta noomusolo omulala eri abantu abasula mu bifo eby’ebbeeyi nga bagamba betaaga okwongera ku ssente zebakungaanya basobola okukola emirimu.