Ssebaana Azzikiddwa Mu Kitiibwa

0
627

Namunji w’omuntu akulumuuse okuva mu bitundu ebitali bimu okweyiwa e Kalule mu Luwero gyebagalamiza eyali senkagale wa Dp John Ssebaana kiziti munju ye eyoluberera.
Ssebaana azikiddwa mu bitiibwa byonna wabula nga bo banabyabufuzi bakozeseza omukisa gwokuziika Sebaana okulangira abali mu buyinza okufuuka banekyemalira era ba sita ntebe nga mukadde kano bali mukukola kyonna ekisoboka okujja ekkomo ku myaka egyessalira omuntu gyatalina kusussa ng’akyavuganya kukyokukulembera egwanga.